KIWEDDE! Owa bodaboda eyakulembeddemu okutta Gongodyo akwatiddwa

KIWEDDE! Owa bodaboda eyakulembeddemu okutta Gongodyo akwatiddwa

dantty.com

Kyaddaki Poliisi efulumizza abikwata ku bantu, abakwatiddwa, abagambibwa okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo okukuba n’okutta Sydney Gongodyo.

Gongodyo, yakubiddwa abatuuze ku ssaawa nga 8 ez’emisana ku Lwokutaano mu bitundu bye Upper Naguru e Bukoto mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala.

Gongodyo ng’abadde muzannyi wa Rugby, muyizi ku Yunivaasite e Makerere era abadde mutuuze ku kyalo Najjera mu Monicipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, aziikiddwa akawungeezi ka leero, mu bitundu bye Sironko.

Yakubiddwa, ku bigambibwa nti yabadde agezaako okunyakula akasawo k’omu ku bakyala.

Wabula wakati mu kunoonya abantu bonna, abalabikira mu katambi ku by’okutwalira amateeka mu ngalo, Poliisi egamba nti erina

1 – Ssebagala Noordin

2 – Ayebazibwe Roden

3 – Namukose Juliet

4 – Mondoni Elly

5 – Twinomujuni Herbert

6 – Katsigazi Perigrino

7 – Tayebwa Darlious

8 – Tugume Hannington

9 – Mugwiisa Obed

10 – Owino Joseph

Mugwiisa Obed, yeyalabikidde mu ‘T-shirt’ ya ‘Yellow’ ng’akuba omugenzi omuggo ku mutwe.

Olukwatiddwa, asobodde okulemberamu ebitongole ebyokwerinda, okubatwala ewa Dobbi, gye yabadde alese T-shirt.

Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti bagenda kunoonya abantu bonna abeenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo, mu by’okutta Gongodyo

Read Next Article

Dantty online Shop
0 Comments
Leave a Comment
Sponsored View All


Salim Saleh Writes to CDF Muhoozi Over Besigye, Lukwago Cases

Ultimate Uganda

Muhoozi shuts down NTV, Daily Monitor

Ultimate Uganda

Ykee Benda: Football unites people more than music

Ultimate Uganda

World 2026 Knockout Round matchups confirmed!

Ultimate Uganda

Museveni, Qatari Investors Explore New Partnership Opportunities

Ultimate Uganda